Joshua 14:6-10

Kalebu Afuna Kebbulooni

6 aAbantu ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa e Girugaali, ne Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi n’amugamba nti, “Omanyi Mukama kye yayogera ne Musa omusajja wa Katonda e Kadesubanea ekikwata ku ggwe nange. 7 bNalina emyaka amakumi ana, Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi, era namuleteera ekigambo nga bwe kyali mu mutima gwange. 8 cNaye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna. 9 dEra Musa yandayirira nti, ‘Ensi ebigere byo kwe biririnnya, mugabo gwo n’abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogoberedde Mukama Katonda wange n’omutima gwo gwonna.’

10 e“Era kaakano Mukama ampangaazizza nga bwe yayogera emyaka gino amakumi ana okuva lwe yakigamba Musa, nga Isirayiri etambula mu ddungu. Era laba kaakano ndi wa myaka kinaana!
Copyright information for LugEEEE